Paroles de Kabisi Ka Ndagala
Paroles de Kabisi Ka Ndagala Par DAVID LUTALO
Awuuuuu
Baby girl , eheee
David Lutalo
Kabisi ka ndagala
Konna tukanywa kawoomerera
Honey manya ekibi nze bwenjagala
Nookukola kulema ndebera
Bwenkulaba nga ndaluka
Nga byonna byensiba biwandagala
Omukwano ogwo ddala ddagala
Nokulya olumu emmere ssiyoya
Alina omumwa ayogera
Nze bwova Wendi baby ndaluka
Yadde nga beekaniikirira
Teri akusinga honey ntunula
Baby girl, wabula nkwagala ebyaddala haloooo
Pretty girl, ye nga nalyoka nenva mu kyalo
Kati nno konkute tonta
Buli wamu wenninnya wookya
Njagala kubeera nga wooba
Ggwe angambira love empeweeza
Tolekera bikole bwotyo
Sinasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto
Nawona endwadde z’okumwoyo
Nze kanzikalire mu lyato
Ndi mugumu alibonga bwongo
Oba bayangala bakolime
Ffe omukwano gwaffe guli mu bire
Ekinugu kibapika batulike
Bayagala kusanga bisibe
Nga tebamanyi na kumanya gyebiyise
Temutuwabula kati mutuleke aah no no no
Ansundira bongo
Love ye entakula mbwongo
Omukwano nange muwa konko
Ndi wano nneesunga bu toto
Yalungiwa akira akaliba k’emmondo
Nze yanfuula na zzonto
Tuba Waka nga twenzannyira tteppo
Ng’ampuusa ku ssupu w’empombo
Nkwagala bwotyo ng’otibula
Ng’okola byejo
Ebibala by’omukwano nga nnyongera kkungula
Ng’okola bwotyo
Tolekera bikole bwotyo
Sinasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto
Nawona endwadde z’okumwoyo
Nze kanzikalire mu lyato
Ndi mugumu alibonga bwongo
Namatira onsobola
N’omutima gubuguumirira
Love yo mazima teguba
Wakola ki okuntamya abalala
Nkizudde bwotapapa
Ofuna birungi olya ku mpogola
Beera ng’onjagala
Ensulo z’omukwano nga ngogola
Baby ssirikyuka
Nkijjira ddala munze Munda
Ababi emitwe bazimbya
Lubeerera tuli wamu balimba
Bazungana nga mpewo
Bamanye , balemesezza njolo
Bataga nga nkoko
Ffe tubakutule ebiwawaatiro
Tolekera bikole bwotyo
Sinasanga bwezigoolo
Eyali amanyi byonna birooto
Nawona endwadde z’okumwoyo
Nze kanzikalire mu lyato
Ndi mugumu alibonga bwongo
Mmmh nanana
David
Mmmh nanana
Lutalo
Mmmh nanana
Mmmh nanana
Mmmh nanana
Ecouter
A Propos de "Kabisi Ka Ndagala"
Plus de Lyrics de DAVID LUTALO
Commentaires ( 0 )
Aucun commentaire pour l'instant
Essayez l'application Mobile
A propos de AfrikaLyrics
Suivre Afrika Lyrics
© 2024, We Tell Africa Group Sarl