BOBI WINE Katengo cover image

Katengo Lyrics

Katengo Lyrics by BOBI WINE


Judgement to the bandit to kill our people
Serwajja okwota akira nnyinimu entanama
Why do you think you’re the first
And last to abuse rights?
Nothing to fear but fear itself
Alright!

Twali mu Uganda yaffe
Baatusanga tweyagalira kuno ne bajja
Ne batusalako, bajja n’amagatto gaabwe
N’obusaati obwali buyulise ku migongo
Ne tubasembeza
Baafera bakadde baffe
Ne tubeesiga ne tubakweka mu kapanga
Ne tubafiirira

Baalya ne lumonde waffe
Twali bagagga be baamalawo ente zaffe
Babbye n’amataka gaffe
Ne gye twali twaziika abantu baffe bajja
Ne babasendawo
Kati bawamba baana baffe
Babatiisa nti buli ayogera wano amazima
Abeera wa kufa
Babakoonye obulenge
N’abamu babasse babasudde mu bitoogo
Batusigamu katengo
Okuggyawo bino naffe tubaddize katengo

Abaana ba wano temuba na katengo
Ekisibye enkyukakyuka ke katengo
Batufuga bumbula lwa katengo
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera n’akatengo
Abantu ba kuno temuba na kutya
Ekisibye enkyukakyuka kwe kutya
Batufuga bumbula lwa kutya
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera n’akatengo

Baaleeta ne curfew ne tumugondera
Ne bamukozesa okutubba n’okutukyunya
Bajja ne mu bufunda ne batukyambuwa
Ng’amabbaala g’abagagga go mwattu gakola
Obucaali bwa wansi buba buggale
Nga waggulu, bo ebyabwe biba biggule
Laba abaana ba boda bali ku ndere
Tebacacapa, yadde okufuna ku kamere
Bino biriwo lwa katengo

Buno obusajja mwe tebutuzannyira ku bwongo
Bazadde baffe baabuweeka ku migongo
Naye kati ssebo bwo bwabafuula abayungwe
Wabula, njagala mukimanye tebutusobola
Bulidde era bukkuse tebwesobola
Abo be mukubagana be basinga okutya
Nebwotulisa balloon baweta ne batema

Abaana ba wano temuba na katengo
Ekisibye enkyukakyuka ke katengo
Batufuga bumbula lwa katengo
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera n’akatengo

Well this is a special dedication
To all the political prisoners
‘member, it’s a Dan Magic Production
You don’t know
Our nation is being mortgaged
And is we
That’s being used as collateral
So ‘member that

Laba obuwumbi bwe beewola
Okulwanyisa obulwadde
Bagula mamundu na teargas
Ate zo ssente ze beewoze
Bwe tuba ba kusasula
Kiritwala myaka nga kinaana
Gye tukoma okutiribira
Gye bakoma okunyagulula
Kiri mu glass
Nti Uganda esobolebwa
Bwoba nga weebase
Kati eno y’essaawa osisimuka
Kiri mu glass
Nti Uganda etundibwa

Abaana ba wano temuba na katengo
Ekisibye enkyukakyuka ke katengo
Batufuga bumbula lwa katengo
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera n’akatengo

Watch Video

About Katengo

Album : Katengo (Single)
Release Year : 2021
Copyright : (c) 2021
Added By : Huntyr Kelx
Published : May 19 , 2021

More BOBI WINE Lyrics

BOBI WINE
BOBI WINE
BOBI WINE

Comments ( 0 )

No Comment yet



About AfrikaLyrics

Afrika Lyrics is the most diverse collection of African song lyrics and translations. Afrika Lyrics provides music lyrics from over 30 African countries and lyrics translations from over 10 African Languages into English and French

Follow Afrika Lyrics

© 2024, We Tell Africa Group Sarl