Dembe Lyrics by BOBI WINE


We no promote no violence
We condemn the violence
Rasta no promote no violence

Mbalaba bakuηηana, balumaηηana, batemaηηana
Mbalaba bavumaηηaa mu kifo ky’okuluηηamya
Omuntu eyandibaddewo okuluηηamya abavubuka
Kati ate y’abakulembera mu kukla obutabanguko
Eh bino bwe nabirabye natidde nnyo
Okulwana mu bavubuka kususse nnyo
Ng’ate abakulembeze kibaswaze nnyo
Wamma abavubuka nze nsaba tukole bwetuti
Nsaba okulonda kubeere kwa dembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu dembe
Bannayuganda mulonde mu dembe
Awo obulamu butunyumire nsabye
Okulonda kubeere kwa dembe
Ah n’obuyiza bukyuke mu dembe
Bannayunganda tubeere ba dembe
Ah n’omwaka gubanyumire

Okuva ku independence tuli mu ntalo
Ky’ekigaanye ne Uganda okkula lwa ntalo
Buli  gavumenti ejja na ntalo
Era baagala okugenda zibe nga ntalo
Bakikola batya eri e busukka nsalo
Abakyusa awatali kulwana ntalo
Lwaki temukitandika ba ssebo
Ng’ate mwagamba ky’ekyabalwanyisa entalo
Lwaki oyoza engoye enjeru
Ate n’ozaanika ku kiti ky’enziro
Lwaki temulabira ku Mandela
Yafuga kimu n’ata bendera
Abakulembeze okulwa mu ntebe
Ky’ekireetera Uganda okufuuka eddebe
Buli ayogererako ng’olwo afuuse mulabe
Ekyo tekituzimba tudda mabega
Abantu obaleka ne balondawo
Omuntu atakoze ne bamuggyawo
Ne ssemateeka akyogela
Bw’omubikula kyosookerako wabula

Nsaba okulonda kubeere kwa dembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu dembe
Bannayuganda mulonde mu dembe
Awo obulamu butunyumire nsabye
Okulonda kubeere kwa dembe
Ah n’obuyiza bukyuke mu dembe
Bannayunganda tubeere ba dembe
Ah n’omwaka gubanyumire

Gano ge mazima gali agakaawa
Atanalabuka kati nkubusa bboyi
Bw’oba nga mu mazima oyagala Uganda
Ne mubikolwa okyilaga nga
Tuzimbe omusinji oguyamba Uganda
Nabana baffe kwebali labilamu
bamanye, nti omuntu ogenda mu buyinza
Tekikyetaagisa kuyiwa musaayi
Bamanye, nti abantu besimbawo
Abantu nebalonda kkoAsinze nabafuuga
Gwebasinze namukwata nemu mukono
Naye, abakulembeze mutalaga kiimu
kyakulwana
Lwaki mutukuza bubi
Laba bwetukuze nga tumanyikiimu
kyakulimba
Lwaki mutukuuza bubi
Nze bwenjogela kukitufu Nonzingulako emisango
Awo oba otufuze bubi Ayawukana ne ndowoza yo
tekyimufula mulabe wo Fena tuli bana U
Omukulembeze omulungi awuliliza ebiluma abantu
Nabaako kyakola wo
Buli muna Uganda wooli
kikukaakata kko okukuma
emirembe
Ffena tuli bana U

Nsaba okulonda kubeere kwa dembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu dembe
Bannayuganda mulonde mu dembe
Awo obulamu butunyumire nsabye
Okulonda kubeere kwa dembe
Ah n’obuyiza bukyuke mu dembe
Bannayunganda tubeere ba dembe
Ah n’omwaka gubanyumire

Dan Magic is a real magician
Dream studio jeguvugidde
Dan Magic is a real magician
Yah man
For God and my Country
Kampala Uganda, Africa
Boo

Watch Video

About Dembe

Album : Dembe (Single)
Release Year : 2020
Added By : Farida
Published : Jan 12 , 2021

More BOBI WINE Lyrics

BOBI WINE
BOBI WINE
BOBI WINE

Comments ( 0 )

No Comment yet



About AfrikaLyrics

Afrika Lyrics is the most diverse collection of African song lyrics and translations. Afrika Lyrics provides music lyrics from over 30 African countries and lyrics translations from over 10 African Languages into English and French

Follow Afrika Lyrics

© 2025, We Tell Africa Group Sarl