Corona Lyrics
Corona Lyrics by YKEE BENDA
Munnayuganda munnange
Corona is here and it is real
Tolyamu munnayuganda munno lukwe
Bw’oba osobola sigala ewaka
Bikka ku mumwa gwo, naaba mu ngalo
Corona is here and it is reeeal!
(Mpaka Sounds)
Uganda, Uganda zuukuka, zuukuka
Uganda, Uganda, Tusabiragane Uganda
Uganda, Uganda, Ekirwadde kizze okutuyuza
Uganda, Uganda
Uganda, Uganda, oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda, oh omwana w’eka weewale corona
Omulabe tulina omu, tulina omu
Olutalo tulina lumu, tulina lumu
Buli omu abe musawo we, Abe musawo we
Uganda tukwatire wamu, tukwatire wamu
Akolola mubeere wala, ka mask kateeke ku mumwa
N’eniimu tekubeera wala, okunaaba kwa kwettanira
Kati naaba engalo, tokolola mu banno
Twewale omunyigo, sigala ku kazigo
Bw’oba otambudde, sanitize to minimize
Don’t you touch your eyes
FBM yo, wamma Sophie
Kino ekirwadde ssi corona coffee
Tell your husband please tell your wifey
Cause everybody need to protect their lifey
Yo, kino ekirwadde kiri viral
Kifaanana biri bye nasoma mu Bible
Teweetaaga mmundu oba rifle
But stay safe for your survival
Feffe Bussi say so
Uganda, Uganda, oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda, oh omwana w’eka weewale corona
Omulabe tulina omu, tulina omu
Olutalo tulina lumu, tulina lumu
Buli omu abe musawo we, Abe musawo we
Uganda tukwatire wamu, tukwatire wamu
Twekwase Katonda y’asobola, ebigaanye abimala
Corona ky’ekizibu naye ate tukisinga obuzibu
Bw’osalawo amazima n’okikola
Tumukoona amagulu, hmmm yeah
Obugalo bukuume buyonjo
Omulwadde tomukweka muweeyo mu lwatu
Let dem know, let dem know know know
New Generation we’re educating
Wash your hands never forget it
Musajja mukulu corona loosing
Social distance, ah standing
Akawuka katambulira ku ngalo zaffe
Kasaasaanyizibwa bantu baffe
Tewecanga tobivaako muntu wange
Bye tukugamba biyamba ggwanga lyaffe
Kati naaba engalo, wekuume, beera ewuwo
Tokuŋaana, tokuŋaanya banno naawe leka
Uganda, Uganda, oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda, oh omwana w’eka weewale corona
Omulabe tulina omu, tulina omu
Olutalo tulina lumu, tulina lumu
Buli omu abe musawo we, Abe musawo we
Uganda tukwatire wamu, tukwatire wamu
Abazadde kino kirumbye tusinziire
Nga bannakazadde b’eggwanga nsaba tusituke
Obuyonjo y’emu ku nkola, ezitangira kino
N’olwekyo tunyiikire, okugondera okuwabulwa
Nkubiriza abavubuka, obutataayaaya
N’abato munaabe engalo nga tonazannya, n’oluvannyuma
Abato munaabe engalo nga tonazannya, n’oluvannyuma
Eh, eno ssi mboozi, ssi mboozi
Eno ssi mboozi, eh, uncle ne jajja
Ndijja ne mbalaba
Mbadde neetegeka naye bino kabimale okuggwa
Twerinda naye nammwe mwerinde
Twekuuma naye nammwe mwekuume
Uganda, Uganda, oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda, oh omwana w’eka weewale corona
Ŋamba mmwe abaana ab’eka eno, Uganda, Uganda
Mwekuume muwone ekirwadde ekyo, Uganda, Uganda
Stand up and fight it
Uganda stand up and fight it
Stand up and lead it, lead corona
Out of Uganda, oh yeah
Stand up and fight it
Stand up and fight it
Stand up and lead it, lead corona
Out of Uganda, oh yeah
Oh Lord
Watch Video
About Corona
More YKEE BENDA Lyrics
Comments ( 0 )
No Comment yet
You May also Like
Get Afrika Lyrics Mobile App
About AfrikaLyrics
Follow Afrika Lyrics
© 2024, We Tell Africa Group Sarl