GENIUS OMUZIRA Mic Check cover image

Mic Check Lyrics

Mic Check Lyrics by GENIUS OMUZIRA


Scoffi Beats ku luno oli wa kunzita
Ekigoma ky'ompadde bakiyita kaleega bikya
One two, Mic check, Yes ok
Genius Omuzira

Kyonna kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula, Mic check
Kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula

Siyimba neeyogerera
System eno gye nkebera
Akamansukira koogera?
Base tezivumbeera?
Ab'emabega mumpulira?
Bye njogera tebyekutula?
Nsumulule? Nnyongeze?
Nkendeeze? Mbwatuze? Mboggoze?
Nzijukize? Njigirize? Nnyanguyirize?
Mpapirize? Mmalirize?
Byonna mbuuza bubuuza

Nababuulira temwawulira
Nabongera temwamatira
Nabasomera temwayawula
Neeriira butaala
Mbayimbira mujugumira
Nnyingira nga mugwiira
Fake rapper ne mmutippa
Ne bw'akoppereza tayinza
Kuteebereza bye ntegeeza
Mwongeza ssimuweeza
Muyigiriza ssimaliriza
Ne mmunaaza ne ku lweza
Omuzira

Kyonna kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula, Mic check
Kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula

Nzigunda nnyanda, Mpanda masanda, Nalonda tender
Nsenda nsonda, Ntunda butunda, Nsunda mata
Mpaata biwata, Mmeketa ppata, Ntafuta data
Mpuuta mpuuta, Mpeta mpeta, Nsotta bisotta

Nsuula suula, Nsala masala, Nsaala saala
Nkeera nkeera, Ntala mitala, Nkoola makoola
Ntoola ddagala, Ntabula ntula, Mbala mabala
Mmira miwuula, Nkola malala, Nsasira nsiisira
Njolesa mpisa, Mpasa mpesa mpisa ku kkanisa
Mansa nsansa, Ntaasa, nteesa, Ntiisa, nfuusa
Nsesa, nsanyusa, Nseesa, nfeesa, Nkukusa bbaasa
Ndoosa, ndobesa, Nsomesa mmisa, Nsusa nsukusa
Nkaaba mataba, Nsiba maliba, Temuba nsuusuuba
Nkuba lukoba, Nfumba mmamba, Nkomba ggumba
Nnyimba nnyimba, Nzimba nnyumba, Nsomba bbumba
Nsanga senga asinga ensonga asiga nsugga
Nnuma maluma, Ntema nnyama, Nkama mpologoma
Nkuuma nkima, Mpoloma nvuuma, Nsoma binyuma
Njoza mmeeza, Njogeza njogeza, Mpooza mpooza
Nsooza nswaza, Nsolooza ffeeza, Nkuza ki?

Kyonna kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula, Mic check
Kye ndiko tombuuza, Mic check
Already kyo kyeyogerera, Mic check
Microphone gye nkebera, Mic check
Nga ssinayimba ne ngiwewula

Kuzuuka, nazuuka
Bwe nazuuka, nakooka
Bwe nakooka, nasukka
Bwe nasukka, ne banteeka
Bwe banteeka, ne mbalabuka
Kwe kulabuka, kwe kubadduka
Namasuka ppaka waka
Ntuuka, nsooka ssika ssuuka
Nseka nsaka cover, nzirya
Nga neekweka tebandaba
Bwe baaloba nabakuba
Nabasiba enkoba akaba
Kabe, kasinge bonna abaali beewaga okufa
Ewasinga nswagginga
Movinga mbouncinga
Mbonga na zi gang
Nnyimirira ssitagala
Njogera mpapirira
Nsumulula ssiwummula
Mbasomera sseekengera
Bamatira nkyatabbira
Mbaduumira mbataamira
Nsumagira bakyakola

Mic check
King Jemcee

Watch Video

About Mic Check

Album : Mic Check (Single)
Release Year : 2023
Added By : Genius Omuzira
Published : Sep 09 , 2023

More GENIUS OMUZIRA Lyrics

GENIUS OMUZIRA
GENIUS OMUZIRA
GENIUS OMUZIRA
GENIUS OMUZIRA

Comments ( 0 )

No Comment yetAbout AfrikaLyrics

Afrika Lyrics is the most diverse collection of African song lyrics and translations. Afrika Lyrics provides music lyrics from over 30 African countries and lyrics translations from over 10 African Languages into English and French

Follow Afrika Lyrics

© 2024, We Tell Africa Group Sarl