...

Paroles de Weezuule Par GENIUS OMUZIRA


Mwoto Sound Baur Nga oyagala okuwangaaza omusibe mu kkomera

Fuba kimu aleme kutegeera nti ali mu kaduukulu

Bakira obulimba ne bwe bulwa wo tebufuuka mazima

Genius Omuzira

Manya Omutonzi ky'akwagaza, Weggye mu busibe bw'endowooza

Weeyise nga bwe watondebwa

Otegeere ky'oli weezuule

Obutonzi bw'ononya buli mu ggwe

Vva mu kuwangaalira ku kikwate

Omwana w'omuddugavu

Tegeera ky'oli weezuule

Buli lw'oligaana okukozesa amagezi go amazaale

Manya waliyo agenda okugeyambisa akutegeerere

Eno ensi we kakutandira omutwe gwo ne gukuva mu

Okusurvivinga omubiri gwonna gukafiira mu

Kuno ku nsi twasindikibwa ko lwa kigendererwa

Naye olw'obutafaayo kwemanya abamu twezibira

Omutonzi yatwambaza emibiri nga alina ky'atwagaza

N'atuweera ko ebitone tusobole okituukiriza

Buli omu yakuteeka teeka n'akussa w'akwagala

N'akutegeka mu nambiko obuyite bwo gye busaanira

Teri alina buyinza kukukyusa mw'ekyo ky'oli

Era tokkiriza nga oli kuyingiza mu ekyo ky'otali

Obuyinza bwa Katonda olina kubwezuula mu ggwe

Ky'ekyakuweesa emmeeme n'amagezi ofumiitirize

Katonda tali mu bitabo nga bwe bamukulowoozesa

Olina kumuyiga ku lulwo ssi kulinda mukusomesa

Manya Omutonzi ky'akwagaza

Weggye mu busibe bw'endowooza

Weeyise nga bwe watondebwa

Otegeere ky'oli weezuule

Obutonzi bw'ononya buli mu ggwe

Vva mu kuwangaalira ku kikwate

Omwana w'omuddugavu

Tegeera ky'oli weezuule

Ekiriisa enkoko omuddo bubeera budde kuziba

Weesumulule ekikookolo ky'obulimba kye baakusiba

Waalimpita omugwagwa era bw'otyo n'ongwengula

Naye manya enswera ekwagala

Ensi zaabwe bakola nnyo zibe eggulu lya buli omu

Gwe eriryo baakusuubiza kumala kufa olituuke mu

Okwetuukiriza ogenda waabwe gy'okukolera

Katonda gwe bakusomesa nnimi zaabwe z'ategeera

Talent n'amakulu go mu nsi mu ggwe mwe bifiira

Anti ne ky'osobola okukola okijuliza ssaala

Okwetukuza weeyawula ku bintu by'ensi byonna

Omutonzi waabwe akwagalira awo nga obonaabona

Tolina kukozesa magezi ge waweebwa kwerowooleza

Olina kugondera kya mu kitabo yadde kikunyigiriza

N'enzikiriza okugiyingira tekubeera kweyagalira

Bakusenda senda lwa mpaka nga bakutiisa mu bye babuulira

Manya Omutonzi ky'akwagaza

Weggye mu busibe bw'endowooza

Weeyise nga bwe watondebwa

Otegeere ky'oli weezuule

Obutonzi bw'ononya buli mu ggwe

Vva mu kuwangaalira ku kikwate

Omwana w'omuddugavu

Tegeera ky'oli weezuule

Gondera Omutonzi mw'ekyo kye yakuwa okubeera

Endaga butonde yo entuufu bwe buwangiro mwe wakkira

Tosindikirizibwa kugoberera buufu butali bubwo

Kye wazaalibwa oli mwe muli amakulu g'obulamu bwo

Ensi komya okugitunuulira nga ogirabira ku ngulu

Okufumiitiriza ebikugambibwa kitwale nga kikulu

Lowooza nga nnyo ku akulumirirwa biki by'aluubirira

Oluvannyuma weebuuze bw'akuyamba wa w'afunira?

Ffe twasangibwa tuli bantu abateeke teeke abategeera

Nga tulina ennono n'empisa ebitasangika walala

Olukalu lwaffe nga twalufuula ensi eyenyumiriza

Ne zireeta abavumirizi ne batukosa mu ndowooza

Kati okwetuukiriza kw'afuuka kwa ssekinnomu

Bulungi bwa nsi byava wo buli omu ali ku lulwe

Society zaggwa mu ensa ba kaggwa ensonyi ne bameruka

So nga twali mu nsi esukka ku kwerowooza ko wekka

Kati nno ky'ekiseera buli omu amaaso ogazibule

Osike empuluttulizo eyakusibwa ku bwongo weenunule

Ozuukuse obuyinza obusumulula entegeera yo

Abuulira omugezi bagamba?

Manya Omutonzi ky'akwagaza

Weggye mu busibe bw'endowooza

Weeyise nga bwe watondebwa

Otegeere ky'oli weezuule

Ecouter

A Propos de "Weezuule"

Album : (Single)
Année de Sortie : 2025
Copyright :
Ajouté par : Genius Omuzira
Published : Mar 19 , 2025

Plus de Lyrics de GENIUS OMUZIRA

GENIUS OMUZIRA
GENIUS OMUZIRA
GENIUS OMUZIRA
GENIUS OMUZIRA

Commentaires ( 0 )

Aucun commentaire pour l'instant



A propos de AfrikaLyrics

Afrika Lyrics est la plus large collection de paroles de chansons et de traductions d’Afrique. Afrika Lyrics fournit les paroles des musiques de plus de 30 pays africains et des traductions de lyrics de plus de 10 langues africaines en français et en anglais.

Suivre Afrika Lyrics

© 2025, We Tell Africa Group Sarl