DAVID LUTALO Yankutudde  cover image

Yankutudde Lyrics

Yankutudde Lyrics by DAVID LUTALO


Omuntu gwennasuumusa
Nebukumalamu obw’o obuntu obutono
Nootakola byewasuubiza oh oh
Amaziga gennakungula
Ggwe gwennali mmanyi nti
Mazima tuliba bumu ppaka lwetulikaddiwa ooh
Mazima najjawa omwesigwa?
Oyo gwembuulira ng’ebyama byange
Naatabibunya jaayita? Eh eh
Oyo atammaze kwegula, gwennaalaga nga gyenterek’ebyange
Naabulako kyabuza eeeh
Byanfuna byebatunuulira
Lwebiba bibuze nga batunula walala
Tebayagala bibasumbuwa
Lwaki wanneefuulira?
Gw’eyangumya nga nookaaba amaziga
Ku lwabali byebankola eehe

Yakiyiye (yankutudde)
Tabiri nako ahoo
Yakyuse (yankutudde)
Bweyaziz’omulyo
Yakiyiye (yankutudde)
Alaga tabiri nako ahoo
Namenyese (yankutudde)
Bino sikyabiddako ohoo

Emikwano kati gya kiferere ehe
Emitima mikalu kati gyereeze
Bwonna obwesigwa mubantu bwagenze
Staani atuli kumugongo yeeweese
Baffe beebatutugumbula
Oyo gwolina owokumwanjo ddala
Abalabe yaabasaggula eeeh
Gweweesiga yaakupangira
Gwowakanira ennyo ennyo
Yaakubajja mu mugongo tebeesigwa ooh
Kiki ekyakutabangula
Nootafunamu ko ndowooza ndala
Kukoma kwebyo byewankola eeh
Jjukila byewali wasuubiza
Nondayirira ntinno magombe
Mpozzi geegalitusattula ooh
Mpulira mmenyese mbikooye
Era nzikirizza ngonze
Yandibadde umulala nga si ggwe
Eyandekesa byonna mbe naawe
Kirabika ssirisiimibwa nze
Oba nga noowange akaaye

Yakiyiye (yankutudde)
Tabiri nako ahoo
Yakyuse (yankutudde)
Bweyaziz’omulyo
Yakiyiye (yankutudde)
Alaga tabiri nako ahoo
Namenyese (yankutudde)
Bino sikyabiddako ohoo

Nasigala kumutego
Nga owange yantuz’eddobo
Yandeka mubisago
Ye yeeyagala ali eri ssebo
Bano basala bulago
Tobamalirako mwoyo gwo
Batutunda muwogo
Obulamubwo abulyamu enkoko
Teebereza gwennabuulira
Buli kyama kyange nenkisensula jaali teyansaasira
Kale nga yangumyagumya
Mbu ye wanjawulo ddala
Nansaba omutima nengubikkula eeh

Yakiyiye (yankutudde)
Tabiri nako ahoo
Yakyuse (yankutudde)
Bweyaziz’omulyo
Yakiyiye (yankutudde)
Alaga tabiri nako ahoo
Namenyese (yankutudde)
Bino sikyabiddako ohoo

Watch Video


About Yankutudde

Album : Yankutudde (Single)
Release Year : 2022
Added By : Farida
Published : May 13 , 2022

More DAVID LUTALO Lyrics

DAVID LUTALO
DAVID LUTALO
DAVID LUTALO
DAVID LUTALO

Comments ( 0 )

No Comment yet



About AfrikaLyrics

Afrika Lyrics is the most diverse collection of African song lyrics and translations. Afrika Lyrics provides music lyrics from over 30 African countries and lyrics translations from over 10 African Languages into English and French

Follow Afrika Lyrics

© 2023, We Tell Africa Group Sarl